Εμφάνιση αναρτήσεων με ετικέτα Luganda. Εμφάνιση όλων των αναρτήσεων
Εμφάνιση αναρτήσεων με ετικέτα Luganda. Εμφάνιση όλων των αναρτήσεων

Κυριακή 16 Απριλίου 2023

Metropolitan Jeronymos Muzeeyi: "Tuleekaanire waggulu nti Kristo azuukidde, buli omu mu Uganda wa ddembe!"


OBUBAKA BWA PASIKA (2023) ERI E’GGWANGA



Abaana bange abaagalwa mu Kristo,
Kristo Azuukidde.
“Nze kuzuukira n’obulamu” (Yok. 11:25).

Yesu Kristo, Mukama waffe era omulokozi, yajja ku nsi okutuwa obulamu obuggya. Obulamu buno obuggya, okusookera ddala, busangibwa mu Katonda, Katonda ow’amazima era omulamu. Wano ku nsi, bwe bulamu bw’abatukuvu.
Kyokka, obulamu buno okusobola okujja, kyetaagisa okumanya obulungi Katonda ow’amazima era omulamu. Kristo yamutubikkulira. Oyo abufunye, ajjudde okwagala era ali mu kussa ekimu ne Katonda ono, abantu banne n’ebitonde. Ekisinga obukulu, obulamu buno obuggya bwesigamiziddwa ku kubeera nga Katonda bw’ayagala, n’okuva ku kibi.
Ekituufu kiri nti awali ekibi, waliwo okufa.
Katonda abeera mu batukuvu atuyita okwenenya buli kiseera tubeere abasaanira obwakabaka bwe obw’omu ggulu, obulamu bwe obutaggwaawo. Wano, Mukama waffe era Omulokozi akissaako akabonero ng’agamba nti “Nze kuzuukira n’obulamu (Yok. 11:25)”, okuyitibwa okwenjawulo eri Abakristiyani Abasodokisi.
Eno y’ensonga lwaki Ekklesia y’Abasodokisi ewa okuzuukira kwa Mukama waffe era Omulokozi waffe, Yesu Kristo, amakulu mangi.
Embaga eno nkulu nnyo ku Kalenda y’Ekklesia y’Abasodokisi. Ye mbaga Ssemabaga, era entabiro z’embaga. Nga balina ekitangaala ekiva mu nsibuko y’ekitangaala, Abakristo Abasodokisi bakuza embaga y’Okuzuukira kwa Yesu Kristo n’essanyu lingi. Kye ssanyu nga buli kimu kijjudde obulamu, obulamu okuva mu ntaana enjereere. Obulamu buno bwennyini kwe kwolesebwa kwa Mukama omulamu afuga. Okuwa buli muntu obuvumu, essuubi, okwagala n'okukkiriza.
Kristo eyazuukira ye byonna era mu byonna. Omuntu atuuka ku buwanguzi ku kufa, mu ngeri endala atuuka ku bulamu obutaggwaawo. Ekklesia ya Kristo, nga gwe mubiri gwa Kristo, y’egenda okututwala mu bulamu obutaggwaawo.
Omuntu kimugwanira okukyalira Kristo ku musaalaba asobole okutegeera obugazi n’obuziba bw’obulamu buno obuggya. Mu mazima, Kristo ku musaalaba ayiwa omusaayi gwe olw’okusonyiyibwa kw’ebibi byaffe. Atununula n’atutabaganya ne Katonda. Ku mulyango oguyingira mu Ekklesia ya Kristo, tuzaalibwa omulundi ogw’okubiri amazzi n’omwoyo.
Mu Klezia, ekyokunywa n’emmere yaffe enkulu, ng’Abakristaayo Abasodokisi, gwe musaayi n’omubiri ebya Kristo. Mu kussa ekimu, tufuna okusonyiyibwa ebibi n’obulamu obutaggwaawo.
Wano omuntu ategeera okuzuukira n’obulamu bwa Kristo okuva mu kussa ekimu, Kristo anaaza omuntu waffe ow’omunda n’obulamu bwaffe n’akyusa obutonde bwaffe. Kristo aggyawo obutwa bw’ekibi n’okuluma kwa sitaani. Tusumululwa era ne tuyingizibwa mu magye ng’abaana ab’obulenzi nab’obuwala ba Katonda, Kitaffe, olw’Ekisa.
Mu kuzuukira kwa Kristo mwe muli essuubi ly'eggwanga eryagalwa Uganda. Nga twolekagana n’okusoomoozebwa kw’eggwanga lyaffe ekulu, batabani ne bawala ba Katonda Kitaffe ab’eddembe, olw’Ekisa, beetegefu era baweereddwa amaanyi n’okwolesebwa kwa Kristo eyazuukira okusitula eggwanga lino okuva waggulu okutuuka ku ntikko. Ekikulu mu kubeerawo kwabwe bwe bubaka bw’okuzuukira. Buba bubaka bwa buwanguzi, buwanguzi ku kufa n’obuwanguzi olw’obulamu obutaggwaawo. Obuwanguzi buno bwa kuleeta mutindo gwo bulamu eri Uganda era ddala eri Bannayuganda bonna. Buba bubaka okwagala mwe kusinga mu kussa ekimu kwaffe ne Katonda, bannaffe n’ebitonde.
Obubaka buno bukkaatiiriza obutuufu bw’omubala gwaffe “Ku lwa Katonda n’Ensi Yange”. Era kiteeka obwawufu bwa Kristo n’okwetongola, ng’omulokozi asobola okutuwa obulamu bw’amazima, wakati mu bulamu bwaffe obw’obuli bw’enguzi, ku nteekateeka y’eggwanga.
Tuzuukusa essuubi lyaffe okusukkuluma ebyo ebinyigiriza obulamu bwaffe. Tuleekaanire waggulu nti Kristo azuukidde, buli omu mu Uganda wa ddembe.

In English:

From Orthodox Uganda about Easter: "In the resurrection of Christ lies the hope for beloved country Uganda - It is a message of victory, victory over death and victory for eternal life!"


Παρασκευή 27 Δεκεμβρίου 2019

OBUBAKA BWA SSEKUKKULU (2019) ERI EGGWANGA - Metropolitan Jonah Lwanga



Uganda Orthodox Church (photo)

Abooluganda abaagalwa
Kristo azaalibbwa. Mumusuute! Kigambo okuva mu ggulu. Mumusisinkane! Kristo ali ku nsi. Musitulwe waggulu! Muyimbire Mukama amawanga mwenna! Mumugulumize mu nnyimba n’essanyu! Mmwe abantu mwenna. Kubanga agulumiziddwa! Jn 13:31 .
Ekklesia eyimba ku mazaalibwa ga Kigambo wa Katonda mu Kristo Yesu, okuyitira mu Mwoyo Mutuukirivu ne Maria Embeerera: Ekyama ekyasirikirwa okuva eddanedda. Ro 16:25-27. Ne kisiinyizibwako bannabbi abatalibamu. “Laba omuwala embeerera aliba olubuto era alizaala omwana owoobulenzi, n’atuumibwa erinnya Emmanuel, ekitegeeza nti, Katonda ali naffe”. Is 7:14. Mt 1:23. Kaakano oluvannyuma, ekyama kino ne kiyolesebwa eri abalonde era abatukuvu ba Katonda. 1Cor 2:10. Ddaladdala, Katonda ali naffe mu kuntuwala kwa Kigambo we, n’okuzaalibwa nga Katondo muntu, kulw’obulokozi bwaffe.
Lino lye Eggwulire addungi, abangi wano mu Yuganda lye bayita Enjiri, nga likwata ku kubikkulirwa kw’ekyama ky’obulokozi kyonna, mu kuntuwala n’okukyala kwa Kigambo Katonda mu Israel. Lk 7:16.
Kigambo ye yaleeta ku nsi, mu Kristo Yesu, okumanya Katonda Owamazima, okuyitira mu njigiriza ye. Mt 11:27. Jn 17:3. Era Kigambo, mu kisa n’okwagala kwa Katonda, ye yassaawo ekkubo ly’okutakkuluzibwa kw’ olulyo lw’ abantu ku mulabe Sitaani ne ku kibi ky’okufa, bwe yateeka obutafa mu kikula ky’abantu. Mt 6:13. 2Tim 1:10. Omutume Paulo awo w’asnziira okulangirira nti: “Tutenderezenga Katonda ayinza okutunyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire amalungi agategeezebwa abantu, Amawulire ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva eddanedda lyonna. Naye kaakano ekyama ekyo kimanyisiddwa okuva mu biwandiike by’abalanzi. Era Katonda owaddinaddi yalagira ekyama kino kimanyibwe abaamawanga bonna, abantu bakkirize Katonda era bamuwulirenga”. Ro 16:25-26. Mt 28:19-20.
Awatali kuwannaanya, wano we wasimbuka essanyu erisukka ekikula, mu kyama kya Kristo, essanyu erisaanidde okubugaana abantu bonna, ensi yonna, n’amawanga gonna! Essanyu lino liba nga lijjudde ettendo lya Kitaffe, ne Mwana Omulokozi, ne Mwoyo Mutuukirivu omukubagiza. Jn 3:29;15:11.
Wabula, essanyu eryo ettukuvu eriva waggulu muggulu nga lijjudde ettendo lya Katonda, liba teryeganya bikolobero na bugeŋenyufu bwa myoyo gy’abantu, abatondekeddwa obuggya mu bufaanane bwa Kristo Kigambo wa Katonda. Gn 1:27. Col 1:10-20. Kwe kugamba nti, newankubadde nga kiyogerebwa lunye, abantu abagoberezi ba Kristo bwe bawera 80 ku buli 100, kaakano mu Yuganda, ebikolobero n’obugeŋenyufu bwa abantu mu ggwanga ku bwabyo bikakasa ekintu kirala! Kubanga obutemu n’obunyazi, obukumpanya n’obwenzi, obusiyazi n’obugwegwenyufu obulala bwonna, nga ebivve ebikutte ejjembe mu Yuganda kaakano, tebikkirizaganya na mutindo gwa njigiriza ya Kristo Kigambo wa Katonda, oyo ebintu byonna mwe byatonderwa,era e yantuwala kulwo’obulokozi bwaffe okuva mu kufaafagana. Mk 7:21-23. 1Cor 5:9-12. Jn 1:1,14.
Nga bwe tukomekkereza obubaka buno, twagaliza Oweekitiibwa President Yoweri Kaguta Museveni, n’aboomu maka ge bonna, Owekitiibwa Vice President Edward Kiwanuka Ssekandi, Bannamateeka, Baminista, Bammemba ba Paalamenti, Ssaabasjja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, Nnaabagereka Silivia, n’Abakulembeze Abensikirano bonna; Abakulembeze Abenzikiriza, era ne Bannayuganda bonna; okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda, mu Mukama waffe Yesus Kristo, kwe kugamba Amazaalibwa ge nga Omwana w’Omuntu atuukiridde, kulw’Obulokozi bw’olulyo lw’Abantu n’obutonde bwonna okuva mu kuzikirira; bibeere bya Mbaga etusobozesa fenna Abakkiriza abakristo okujaganya ennyo, nga bwe tutegera mubujjuvu n’ensonga eno eyaleeta Kigambo wa Katonda ku nsi. Amiina.


Δευτέρα 25 Δεκεμβρίου 2017

OBUBAKA BWA SSEKUKKULU (2017) ERI EGGWANGA


Christmas Message 2017 (Luganda Version)
English Version here
Uganda Orthodox Church


Okuzaalibwa kwo, Katonda waffe Kristo, (Is 9:6), Kwayasa ku nsi Omusana ogw’Obutegeevu.
Kuba mu kwo, Abaali basinza emmunyeenye, Era basomesebwa Mmunyeenye. (Mt 2:2, 10), Okusinza Ggwe,
 

Enjuba y’Amazima! Era bakumanye, Okuva waggulu Ebuvanjuba. Jn 3:16
Mukama, Tukutendereza!
Abooluganda abatunuulira/ abatuwuliriza!
 

Era nate fenna Abakristo tuutuno, n’omwaka guno tujaganya nga tuyolesa mu ngeri eyenjawulo ekyama ky’okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda Patri mu Kristo Yesu, okuyitira mu Maria Embeerera ne Mwoyo Mutuukirivu. Is 7:17. Lk 1:35. Eph 3:4-6, 9-12. Jn 1:1-3. Nga bwe kimanyiddwa, na kino ekyama ky’okuntuwala kwa Kigambo, Omwana wa Katonda, mu Yesu Kristo Omwana w’Omuntu atuukiridde, kyama kikulu ddaladdala nga ekyama ky’okuzuukira kwe mu bafu bwe kiri. Dan 7:13. Mt 12:40. Kubanga, wakati w’ebyama bino byombi, we wesengeka ebyamagero byonna ebirala, ebikwata ku bunnakitume bwa Kigambo wa Katonda gye tuli, nga Mukama waffe Yesu Kristo era omulokozi, okuva mu buwambe bwaffe n’omulabe Sitaani. Mt 3:17; 17:5. Heb 3:1

Dawudi kabaka, era omu ku balanzi b’okuntuwala kwa Kigambo (Lk 20:43. Ps 110), atukoowoola fenna ne kaakano ”Mwenna mmwe abatukuvu (abakkiriza), mutendereze musanyuke olw’ebyo Mukama Katonda by’akola byonna…. Muleekaane mwenna olw’essanyu, n’omutima nga mulongoofu”! Ps 33:1-. Lwaki abakkiriza fenna tusaanidde okutendereza n’okuleekaana olw’essanyu? Kubanga, “Katonda (Patri) ye yalagira; eggulu n’ensi ne bitondekebwa! Ebirimu byonna byatondebwa na Kigambo we”. Ps 33:6,9. Mwoyo we n’akumaakuma obutonde. Gn 1:1-3. 



N’Omutume John omunnabyakatonda, wano wennyini w’ayongerezaako obujulirwa obubwe ku kyama kino:”Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo wa Katonda nga waali. Kigambo yaliwo ne Katonda, era nga yoomu ne Katonda…. Ebintu byonna byatonderwa mu ye. Awatali ye tewali kintu na kimu ekyatondebwa…” Jn 1:1- . Kigambo oyo Omwana wa Katonda, mu bwaddinaddi bwe, “Ye yava mu ggulu. N’akka kulwa ffe abantu. N’olw’obulokozi bwaffe, n’atwalibwa omubiri. Mu Maria Embeerera. Era n’afuuka Omuntu…” Lk 1:26-. Nicene Creed,§3.
 

Eyo ku ntono z’ekyama ky’okuntuwala kwa Kigambo nga tuvuddeyo, olw’embeera y’omulembe gwaffe guno ogutakkiriza, Mk 16:16. Jn 3:18 ekigwamu okwetegerezebwa ennyo kye kino. Nti, Ekitabo Ekitukuvu, mu bulambirira bwakyo (Endagaano Enkadde n’Empya), kyerulira era kittottola bwekwamu obuliwo wakati wa Katonda n’abantu mu Kristo Kigambo we ko ne Mwoyo Mutuukirivu, ku lutalo lw’okulwanagana n’omulabe w’ekyetaago kya Katonda.
 

Gn 3:1-. Mt 7:21;12:50. Jn 6:38-40. Olw’ekyo, wamu ne Bamalayika, abantu bonna abali ku lutalo luno, ng’abakkiriza oba Abakristo, abalina obufumintiriza obumala ku nsonga y’ekibi eno, mu kyafaayo ky’ensi yonna, batendereza, bajaganya era bayimbira waggulu, olw’okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda mu Kristo Yesu. Lk 2:1-20. Kubanga, Oyo ye mutuukirivu, ye mugeegenyebwa, era ye mulabireko mu byonna, nga obufaanane bwa Katonda (Patri). Omutukuvu Paulo awandiika mu bwamufu: “ Abo bamutakkiriza, Sitaani katonda w’omulembe guno abazibye emitima n’abaziyiza okukkiriza n’okulaba ekitangaala ky’Eggwulire eddungi ery’ekitiibwa kya Kristo, oyo alabirwamu obufaanane bwa Katonda “. 2Cor 4:4. “Kristo yennyini oyo gwe tulabiramu Katonda atalabika, era ye Mwana omubereberye, akulira ebitonde byonna. Kubanga ebintu byonna mu ggulu ne mu nsi, ebirabika n’ebitalabika, entebe z’obwakabaka oba obufuzi bwamatwale, oba obuyinza bw’abakungu, byonna byatonderwa mu ye era ku lulwe. Ye yaliwo nga ebintu byonna tebinnatondebwa; era byonna bibeerawo mu ye. Ye gwe mutwe gw’omubiri, Ekklesia, ye ntandikwa, ye mubereberye mu kukkiriza, ky’ava aba omubereberye mu byonna. Kubanga Katonda yasiima okutuukirira kwonna kubeerenga mu Kristo”..Col 1:15-20 Gn 1:26, 27.
 

Nga bwe tukomekkereza obubaka buno, twagaliza Oweekitiibwa President Yoweri Kaguta Museveni, n’aboomu maka ge bonna, Oweekitiibwa Vice President Edward Kiwanuka Sekandi, Bannamateeka, Baminista, Bammemba ba Paalamenti, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, Nnaabagereka Silivia, n’Abakulembeze Abensikirano bonna; Abakulembeze Abenzikiriza, era ne Bannayuganda bonna; okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, kwe kugamba Amazaalibwa ge nga Omwana w’Omuntu atuukiridde, kulw’Obulokozi bw’olulyo lw’Abantu; bibeere bya Mbaga etusobozesa fenna Abakkiriza abakristo okujaganya ennyo, nga bwe tutegeera n’ensonga eyaleeta Kigambo wa Katonda Ono ku nsi. Amiina.


Welcome to Uganda Orthodox Church! (The official site)
Orthodox Uganda (tag)  
 
African Initiated Churches in Search of Orthodoxy...
How “White” is the Orthodox Church?
Ancient Christian faith (Orthodox Church) in Africa

Orthodox Christmas in Africa & all the World (tag)