Δευτέρα 25 Δεκεμβρίου 2017

OBUBAKA BWA SSEKUKKULU (2017) ERI EGGWANGA


Christmas Message 2017 (Luganda Version)
English Version here
Uganda Orthodox Church


Okuzaalibwa kwo, Katonda waffe Kristo, (Is 9:6), Kwayasa ku nsi Omusana ogw’Obutegeevu.
Kuba mu kwo, Abaali basinza emmunyeenye, Era basomesebwa Mmunyeenye. (Mt 2:2, 10), Okusinza Ggwe,
 

Enjuba y’Amazima! Era bakumanye, Okuva waggulu Ebuvanjuba. Jn 3:16
Mukama, Tukutendereza!
Abooluganda abatunuulira/ abatuwuliriza!
 

Era nate fenna Abakristo tuutuno, n’omwaka guno tujaganya nga tuyolesa mu ngeri eyenjawulo ekyama ky’okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda Patri mu Kristo Yesu, okuyitira mu Maria Embeerera ne Mwoyo Mutuukirivu. Is 7:17. Lk 1:35. Eph 3:4-6, 9-12. Jn 1:1-3. Nga bwe kimanyiddwa, na kino ekyama ky’okuntuwala kwa Kigambo, Omwana wa Katonda, mu Yesu Kristo Omwana w’Omuntu atuukiridde, kyama kikulu ddaladdala nga ekyama ky’okuzuukira kwe mu bafu bwe kiri. Dan 7:13. Mt 12:40. Kubanga, wakati w’ebyama bino byombi, we wesengeka ebyamagero byonna ebirala, ebikwata ku bunnakitume bwa Kigambo wa Katonda gye tuli, nga Mukama waffe Yesu Kristo era omulokozi, okuva mu buwambe bwaffe n’omulabe Sitaani. Mt 3:17; 17:5. Heb 3:1

Dawudi kabaka, era omu ku balanzi b’okuntuwala kwa Kigambo (Lk 20:43. Ps 110), atukoowoola fenna ne kaakano ”Mwenna mmwe abatukuvu (abakkiriza), mutendereze musanyuke olw’ebyo Mukama Katonda by’akola byonna…. Muleekaane mwenna olw’essanyu, n’omutima nga mulongoofu”! Ps 33:1-. Lwaki abakkiriza fenna tusaanidde okutendereza n’okuleekaana olw’essanyu? Kubanga, “Katonda (Patri) ye yalagira; eggulu n’ensi ne bitondekebwa! Ebirimu byonna byatondebwa na Kigambo we”. Ps 33:6,9. Mwoyo we n’akumaakuma obutonde. Gn 1:1-3. 



N’Omutume John omunnabyakatonda, wano wennyini w’ayongerezaako obujulirwa obubwe ku kyama kino:”Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo wa Katonda nga waali. Kigambo yaliwo ne Katonda, era nga yoomu ne Katonda…. Ebintu byonna byatonderwa mu ye. Awatali ye tewali kintu na kimu ekyatondebwa…” Jn 1:1- . Kigambo oyo Omwana wa Katonda, mu bwaddinaddi bwe, “Ye yava mu ggulu. N’akka kulwa ffe abantu. N’olw’obulokozi bwaffe, n’atwalibwa omubiri. Mu Maria Embeerera. Era n’afuuka Omuntu…” Lk 1:26-. Nicene Creed,§3.
 

Eyo ku ntono z’ekyama ky’okuntuwala kwa Kigambo nga tuvuddeyo, olw’embeera y’omulembe gwaffe guno ogutakkiriza, Mk 16:16. Jn 3:18 ekigwamu okwetegerezebwa ennyo kye kino. Nti, Ekitabo Ekitukuvu, mu bulambirira bwakyo (Endagaano Enkadde n’Empya), kyerulira era kittottola bwekwamu obuliwo wakati wa Katonda n’abantu mu Kristo Kigambo we ko ne Mwoyo Mutuukirivu, ku lutalo lw’okulwanagana n’omulabe w’ekyetaago kya Katonda.
 

Gn 3:1-. Mt 7:21;12:50. Jn 6:38-40. Olw’ekyo, wamu ne Bamalayika, abantu bonna abali ku lutalo luno, ng’abakkiriza oba Abakristo, abalina obufumintiriza obumala ku nsonga y’ekibi eno, mu kyafaayo ky’ensi yonna, batendereza, bajaganya era bayimbira waggulu, olw’okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda mu Kristo Yesu. Lk 2:1-20. Kubanga, Oyo ye mutuukirivu, ye mugeegenyebwa, era ye mulabireko mu byonna, nga obufaanane bwa Katonda (Patri). Omutukuvu Paulo awandiika mu bwamufu: “ Abo bamutakkiriza, Sitaani katonda w’omulembe guno abazibye emitima n’abaziyiza okukkiriza n’okulaba ekitangaala ky’Eggwulire eddungi ery’ekitiibwa kya Kristo, oyo alabirwamu obufaanane bwa Katonda “. 2Cor 4:4. “Kristo yennyini oyo gwe tulabiramu Katonda atalabika, era ye Mwana omubereberye, akulira ebitonde byonna. Kubanga ebintu byonna mu ggulu ne mu nsi, ebirabika n’ebitalabika, entebe z’obwakabaka oba obufuzi bwamatwale, oba obuyinza bw’abakungu, byonna byatonderwa mu ye era ku lulwe. Ye yaliwo nga ebintu byonna tebinnatondebwa; era byonna bibeerawo mu ye. Ye gwe mutwe gw’omubiri, Ekklesia, ye ntandikwa, ye mubereberye mu kukkiriza, ky’ava aba omubereberye mu byonna. Kubanga Katonda yasiima okutuukirira kwonna kubeerenga mu Kristo”..Col 1:15-20 Gn 1:26, 27.
 

Nga bwe tukomekkereza obubaka buno, twagaliza Oweekitiibwa President Yoweri Kaguta Museveni, n’aboomu maka ge bonna, Oweekitiibwa Vice President Edward Kiwanuka Sekandi, Bannamateeka, Baminista, Bammemba ba Paalamenti, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, Nnaabagereka Silivia, n’Abakulembeze Abensikirano bonna; Abakulembeze Abenzikiriza, era ne Bannayuganda bonna; okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, kwe kugamba Amazaalibwa ge nga Omwana w’Omuntu atuukiridde, kulw’Obulokozi bw’olulyo lw’Abantu; bibeere bya Mbaga etusobozesa fenna Abakkiriza abakristo okujaganya ennyo, nga bwe tutegeera n’ensonga eyaleeta Kigambo wa Katonda Ono ku nsi. Amiina.


Welcome to Uganda Orthodox Church! (The official site)
Orthodox Uganda (tag)  
 
African Initiated Churches in Search of Orthodoxy...
How “White” is the Orthodox Church?
Ancient Christian faith (Orthodox Church) in Africa

Orthodox Christmas in Africa & all the World (tag)

Δεν υπάρχουν σχόλια:

Δημοσίευση σχολίου