Uganda Orthodox Church (photo)
Abooluganda abaagalwa
Kristo azaalibbwa. Mumusuute! Kigambo okuva mu ggulu. Mumusisinkane! Kristo ali ku nsi. Musitulwe waggulu! Muyimbire Mukama amawanga mwenna! Mumugulumize mu nnyimba n’essanyu! Mmwe abantu mwenna. Kubanga agulumiziddwa! Jn 13:31 .
Ekklesia eyimba ku mazaalibwa ga Kigambo wa Katonda mu Kristo Yesu, okuyitira mu Mwoyo Mutuukirivu ne Maria Embeerera: Ekyama ekyasirikirwa okuva eddanedda. Ro 16:25-27. Ne kisiinyizibwako bannabbi abatalibamu. “Laba omuwala embeerera aliba olubuto era alizaala omwana owoobulenzi, n’atuumibwa erinnya Emmanuel, ekitegeeza nti, Katonda ali naffe”. Is 7:14. Mt 1:23. Kaakano oluvannyuma, ekyama kino ne kiyolesebwa eri abalonde era abatukuvu ba Katonda. 1Cor 2:10. Ddaladdala, Katonda ali naffe mu kuntuwala kwa Kigambo we, n’okuzaalibwa nga Katondo muntu, kulw’obulokozi bwaffe.
Lino lye Eggwulire addungi, abangi wano mu Yuganda lye bayita Enjiri, nga likwata ku kubikkulirwa kw’ekyama ky’obulokozi kyonna, mu kuntuwala n’okukyala kwa Kigambo Katonda mu Israel. Lk 7:16.
Kigambo ye yaleeta ku nsi, mu Kristo Yesu, okumanya Katonda Owamazima, okuyitira mu njigiriza ye. Mt 11:27. Jn 17:3. Era Kigambo, mu kisa n’okwagala kwa Katonda, ye yassaawo ekkubo ly’okutakkuluzibwa kw’ olulyo lw’ abantu ku mulabe Sitaani ne ku kibi ky’okufa, bwe yateeka obutafa mu kikula ky’abantu. Mt 6:13. 2Tim 1:10. Omutume Paulo awo w’asnziira okulangirira nti: “Tutenderezenga Katonda ayinza okutunyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire amalungi agategeezebwa abantu, Amawulire ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva eddanedda lyonna. Naye kaakano ekyama ekyo kimanyisiddwa okuva mu biwandiike by’abalanzi. Era Katonda owaddinaddi yalagira ekyama kino kimanyibwe abaamawanga bonna, abantu bakkirize Katonda era bamuwulirenga”. Ro 16:25-26. Mt 28:19-20.
Awatali kuwannaanya, wano we wasimbuka essanyu erisukka ekikula, mu kyama kya Kristo, essanyu erisaanidde okubugaana abantu bonna, ensi yonna, n’amawanga gonna! Essanyu lino liba nga lijjudde ettendo lya Kitaffe, ne Mwana Omulokozi, ne Mwoyo Mutuukirivu omukubagiza. Jn 3:29;15:11.
Wabula, essanyu eryo ettukuvu eriva waggulu muggulu nga lijjudde ettendo lya Katonda, liba teryeganya bikolobero na bugeŋenyufu bwa myoyo gy’abantu, abatondekeddwa obuggya mu bufaanane bwa Kristo Kigambo wa Katonda. Gn 1:27. Col 1:10-20. Kwe kugamba nti, newankubadde nga kiyogerebwa lunye, abantu abagoberezi ba Kristo bwe bawera 80 ku buli 100, kaakano mu Yuganda, ebikolobero n’obugeŋenyufu bwa abantu mu ggwanga ku bwabyo bikakasa ekintu kirala! Kubanga obutemu n’obunyazi, obukumpanya n’obwenzi, obusiyazi n’obugwegwenyufu obulala bwonna, nga ebivve ebikutte ejjembe mu Yuganda kaakano, tebikkirizaganya na mutindo gwa njigiriza ya Kristo Kigambo wa Katonda, oyo ebintu byonna mwe byatonderwa,era e yantuwala kulwo’obulokozi bwaffe okuva mu kufaafagana. Mk 7:21-23. 1Cor 5:9-12. Jn 1:1,14.
Nga bwe tukomekkereza obubaka buno, twagaliza Oweekitiibwa President Yoweri Kaguta Museveni, n’aboomu maka ge bonna, Owekitiibwa Vice President Edward Kiwanuka Ssekandi, Bannamateeka, Baminista, Bammemba ba Paalamenti, Ssaabasjja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, Nnaabagereka Silivia, n’Abakulembeze Abensikirano bonna; Abakulembeze Abenzikiriza, era ne Bannayuganda bonna; okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda, mu Mukama waffe Yesus Kristo, kwe kugamba Amazaalibwa ge nga Omwana w’Omuntu atuukiridde, kulw’Obulokozi bw’olulyo lw’Abantu n’obutonde bwonna okuva mu kuzikirira; bibeere bya Mbaga etusobozesa fenna Abakkiriza abakristo okujaganya ennyo, nga bwe tutegera mubujjuvu n’ensonga eno eyaleeta Kigambo wa Katonda ku nsi. Amiina.
Δεν υπάρχουν σχόλια:
Δημοσίευση σχολίου